Muddukire Densite Zammwe

0
942

Ekitongole ekiwandiisa abantu n’okugaba endaga muntu ki National Identification and Registration Authority e Mukono kitubidde ne ndaga muntu eziwerera ddala emitwalo 6 nga bananyizo baganye okuzinona okuva mu mwaka gwa 2014.
Omubaka wa pulezidenti e Mukono Major David Matovu nga alambula okulaba omulimu gwo kugaba endaga muntu nga ekiseera kyo kuwandisa amasimu kibula ko enaku mbale, akunze bana mukono okudukira endaga muntu zabwe zino kubanga zamugaso nyo gyebali.