Abavubuka e Mukono Bawanda Muliro, Tebaagala Kuggya Kkomo Ku Myaka

0
1046

Abakulembezze ba bavubuka ku mitendera egyenjawulo mu kibuga mukono okuli ba kansala, ba sentebe ba magombolola, emiruka ne byaalo omuli nabo abe kibiina kya NRM bavuddemu omwassi ku nteekateeka ababaka ba palamenti gye baliko eyo kugya ekkomo kumyaka gya pulezidenti nga bagamba nti bano bali mukulya mu nsi yabwe lukwe. Bano balangidde pulezidenti Museveni ebisongovu omuli omulugube gwe byobufuzi ogutusse nokulemezze mu ntebe nga alowooze yeyekka alina obusobuzi.