Aba Poliisi Babiri Batiddwa Bakuuma Ssente

0
1041

Oluvanyuma lw’abofiisa ba Poliisi ababadde bawerekera emotoka ebadde etambuuza ensimbi ngeno ya Kampuni ya Denovo okutibwa enkya yaleero, Poliisi egamba nti egenda kusaawo amateeka amakakali ennyo , eri abo bonna ababa bagala bofiisa bekitongole okubawa obukuumi, nga yenna anaba alemereddwa okugatukiriza ebyokufuna bofiisa ba Poliisi baba babyesonyiwa.