Omubaka Ssekikubo Ebya Poliisi ku Ky'emya Abigaanye

0
976

Omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo ajeemye okweyanjula ku kitebe kya bambega ba polisi okutuusa ng’amalirizza okukulemberamu eddimu ery’okulemesa abaagala okutaganjula ssemateeka. Ssekikubo aweze bwatajja kuva ku paalamenti okulaga awantu wonna kubanga wabaddewo oluvuuvuumo nti olwaleero omubaka Raphael Magyezi ne banne babadde mu lukwe olw’okwagala okwanja ekiteeso kyabwe eky’okuggya ekkomo ku myaka omuntu yenna weyeesimbira ku bwapulezidenti.