Kasirye Ggwanga ‘Alumbye’ Paalamenti

0
1353

Olunaku luno Olwokuna lwakedde nga bangi basuubira bya njawulo wabula ng’endowooza nnyingi zirina akakwate ku kiteeso ekitandika emitendera gy’okukola ennongoosereza mu kawaayiro ka ssemateeka aka 102 (b), n’ekigendererwa eky’okuggya ekkomo ku myaka omuntu kw’ayinza okwesimbira ku bukulembeze bw’eggwanga, emyaka 75 giveewo, abazeeyuse n’abakootakoota nabo babe n’ebbetu ery’esimbawo. Wakati mu kayisanyo akabadde ku paalamenti mwemujjidde n’ababadde batasuubirwa. Tobeebuuza, baabano omusasi waffe bakira tabajjaako kamera.