Ababaka Balabudde Poliisi ku Lw'enkya, Anti Emyaka

0
882

Ababaka ba palamenti abalwanyisa okuggya ekkomo ku myaka gy’okwesimbawo ku bwapulezidenti batiisatiisizza okulemesa entuula za paalamenti zonna singa poliisi eddamu okukwata omubaka wa paalamenti yenna ku nsonga ezeekuusa ku kuggya ekkomo ku myaka. Ababaka ababade abakambwe ennyo era beerayiridde okuyiwa omusaayi n’omupolisi yenna anaagezaako okulemesa omubaka wa paalamenti yenna okuyingira paalamenti okuteeseza abantu abaamulonda.