Baabano Bagamba Be Batemu

0
899

Amagye gagamba nga bwegatandiikidewo okunonyereza ku bubaka obutereddwa ku mikutu gimugatta bantu nga bulaga nti waliwo akabinja kabayekera abeyise ba Scad akakasa nti kekali emabega wobutali butebenkevu obuliwo mugwanga. Ayogerera amagye amagye gegwanga Brig Richard Karemaire agamba nti tebayinza kutuula butuuzi era abakugu mubyuma bi kali magezi okuwenja bano. Wabula agamba nti bano tebayinza kubasuza nga batunula kuba bangi abagezezaako okumamulako Gavumenti babawangudde nga nebano bagya kuwangulwa.