Paalimenti Esimye Kadaga

0
1219

Palamenti kati etaliimu bavuganya esiimye omulimo omulungi ogwakoleddwa sipiika Rebecca Alitwala Kadaga okutaasa ekifaananyi kya paalamenti ng’agoba ababaka abaabadde basiiwuuse empisa okumala entuula za paalamenti ssatu. Mu lutuula lwa paalamenti olutudde leero, ababaka batenderezza Kadaga okuba omukyala omuzira, omwetowaze, era eyabbadde talina kyakukola kirala okuggyako okufuumuula ababaka okusobola okutaasa ekifaananyi kya parlamenti n’eggwanga okutwaliza awaamu.