Lwaki Magyezi Teyesiga Kakiiko?

0
1212

Ababaka ba NRM abali ku kakiiko ka paalamnti akakola ku mateeka bambalidde munnaabwe Raphael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky’okujja ekkomo ku myaka gy’okwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga. Bano bagamba nti magyezi yasobezza okulumba akakiiko ng’agamba nti takeesiga era kasattululwe. Ababaka okuli Hamson Obua ow’essaza ly’e Ajuri county ne Abas Agaba owa Kitagwenda nga bombi ba NRM bagambye nti kikyamu Omubaka Raphael Magyezi okugamba nti teyeesiga kakiiko, wabula talina kyakukola okuggyako okwetekateeka annyonnyole akakiiko lwaki yayanjulira paalamenti ekiteeso kino.