Banannyini Ttaka Batabukidde Kagina

0
822

Okukola oluguudo lw’e Bumbobi-Lwakhakha e Mbale kuzzeemu nnabe oluvannyma lw’abatuuze okwekumamu ogutaaka nebayimiriza kampuni government gyeyatwalayo okulukola nga baagala esooke kubaliyirira olw’ettaka lwabwe. Bano bagamba nti engeri gyebabadde babasasula ssente tematiza kubanga gavt yasasulako abantu nga 4 ate nebabuuka abantu 10 kyebalowooza nti bukodyo bwa government kubalyazaamaanya. Bino bibadde Mbale ng’akulira ky’ebyenguudo ki UNRA ne minister wa azivunaanyizibwako nga bagenzeeyo okubannyonnyola.