Aba FDC Batabukidde Poliisi Lwa Nandala Mafabi

0
1050

Abakulembeeze b’ekibiina kya Fdc mu Elgon ne Bukedi begatiddwako abawagizi b’omubaka Nathan Nandala Mafabi nebalagira Poliisi amangu ennyo okuyimbula omubaka waabwe, nga singa tebakola kino balinde bulinzi kyebagenda kuzaako. Mafabi yakwatibwa ku lunaku lwakutaano bweyali ayolekera ekitundu kyakikirira era olwagyo abawagizi be balumbye Poliisi nga bagala ayimbulwe naye bakotokedde busa, nga kati balabude nti Poliisi erabika erina kyebanonyako.