Amerika Etaddemu Ensimbi mu Kusoma

0
863

Alipoota nyingi ezizze zifuluma nga ziraga nga abantu ba Uganda bwebatali bajumbize mu kusoma ebitabo nga kino kiba kikendeeza okumanya kwabwe nokugaziya obwongo. Ensangi zino waliwo kawefube ow’okwagazisa abaana okusoma ebitabo nga wabula kino abakugu bagamba kirina kutandikira waka nga nabazadde benyigiddemu okusobola okuvaamu ebibala nga abaana bayiga okusoma ennimi enansi wamu n’omuluzungu.