Ababaka Baloopye Kadaga mu Kkooti N’agaana Okugenda

0
838

Omubaka wa Busiro East munnamateeka Medard Lubega Seggona n’owa Ndorwa East Winfred Niwagaba basubiddwa okulonda okubadde mu paalimenti leero, bwebakwatiddwa poliisi nga bagezaako okutwalira sipiika Alitwala Kadaga ebbaluwa omuyita mu kkooti enkulu annyonnyole ekyamugobya ababaka Omukaaga mu paalimenti, ku bbalaza ya ssabiiti eno. Mu kiseera kino, sipiika abadde akubiriza lukiiko era ebibaddewo abitegedde luvannyuma.