Endooliito Z'akatale ke Nateete

0
795

Abasuuubuzi b’omu katale ke Nateete bafunye ku buwerero minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya bw’abagumizza nga bwebatalina gyebalaga wadde nga kkampuni ya RR ebadde ebagobaganya. Kino kiddiridde alipoota eyakoleddwa abakungu minisita beyateekawo okunoonyereza ku nnsonga z’akatale kano okukizuula nti abakulembeze ba KCC baali baakozesa olukujjukujju okutunda liizi ku ttaka ly’akatale kano.