Omugga Kiyira Ekyobulambuzi Ekisikiriza Ennyo mu Uganda

0
979

Omugga Kiyira kyekimu kubyobulambuzi ebisikiriza enyo abalambuzi mu Uganda, omugga guno nga olese eky’okuba nti gwegumu ku migga ejisinga buwanvu munsi yonna, n’engeri jegulukulutamu nga gudda mubukiika Kkono, bigufuula gwa njawulo. Guliko abiyiriro bingi ddala era bino bisomba abalambuzi okuva mu buli kanyomero ka nsi eno okujja okubiraba, okubisaabalirako n’ebiralal. Wabula bangi naddala abanyumirwa emizanyo gyokumazzi nga ogwakazibwaako white water rafting, Kayaking nemirala mingi.