Anywar Asekeredde Abamukolokota

0
911

Omubaka w’ekibuga Kitgum Beatrice Anywar kyaddaki avuddeyo nayanukula abantu abagamba nti yabayiwa bweyawagira eky’okujja ekkomo ku myaaka gya president Anywar agamba nti akaddiye era ng’etalo ezekika kino takyazisobola kyokka alabudde bannakibiina kya FDC okumwesonyiwa nga naswi bweyeesonyiwa engalabi kubanga abantu b’ekubuga Kitgum beebamulinako obuvunaanyizibwa so ssi kibiina ekyo. Ayongeddeko nti FDC yamusulawo ate kati eyagala yeeyise nga munnakibiina ekintu kyatasobola kukkiriza anti atakulekera naawe tomulekera.