Olwaleero omwoyo gw’omugenzi eyali Ssaabalabirizi W’ekkanisa ya Uganda Dr. Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo lwebagusabidde mu lutikko eyabatukuvu bonna e Nakasero, mu kusaba okwetabiddwamu n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni. Eno abantu bonna batenderezza omugenzi olw’obukozi kko obwetowaze, ate nookwagala ennyo Mukama Katonda we. Ye pulezidenti era abadde munywanyi wa Nkoyoyo yeyamye okutwala mu maaso ebyo Nkoyoyo byabadde atambuza naddala eddimu ly’okuzimba ekkaddiyiro y’abajulizi erye Namugongo.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here