Olunaku lw’enkya tiimu ye ggwanga the Cranes ejakuzannya omupiira gwayo ogw’okwegezamu ogusembayo nga tebaneetaba mu mpaka za CHAN ez’omwaka guno ezitandika nga 14 omwezi guno. Uganda yakwegezamu ne Congo mu kibuga Rabat ekye Morocco nga tebanagenda Marakesh gyebanazanyira mu kibinja B Uganda mweri. Wabula nga tebanagenda, omutendesi Sebastien Desabre alina okusalako abazannyi babiri era obunkenke mu bazannyi bweyongede.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here