Abatuuze e Gangu Bavuganya na Nte Okufuna Amazzi

0
814

Abatuuze b’e Gangu mu gombolola y’e makindye ssaabagabo wano ku nkingizzi z’e Kibuga Kampala balaajana lwa mazzi anti wetogerera basena gaakidiba ekitadde obulamu bwabwe mu matigga. Beeraliikirivu ebitagambika nti ssaawa yonna bandirumbibwa ebirwadde ebikambwe, era wano omulanga baguyisizza ku Masengejje gugende eri gavumenti ebadduukirire nga ekiwundu tekinasamba ddagala.