Endagaano ya Uhuru Teyambye Uganda – Babaka

0
818

Ababaka ba palaamenti abatula ku kakiiko akavunanyizibwa kubyensimbi banyiivu olwa gavumenti ya Kenya okumenya endagaano gyeyakola ne gavumenti ya uganda okugula eddagala lya sirimu nomusujja okuva mu kkolero lya quality chemicals elisangibwa e luzira wabula nga eganye okugitukiriza. Ababaka okulaga obukambwe eri gavumenti ya kenya kidiridde abakulira ekolero liino okutegeza akakiiko nti okuva mu mwaka ogwe 2015 endagano eno gweyakolebwa nga presidenti uhuru aze kubugenyi kuuno, gavumenti ye kenya erabika yabawudisa nga kyetaga gavumenti kaati eyingire munsonga ziino.