Enttendekero ly'okusomesa Amasomo G'obwanginiya lwa Kuzimbibwa

0
1057

Ekitongole ekikola okunoonyereza ku byamakolero ki Uganda industrial Research Institute ekisangibwa e Kyambogo mu Kampala kibakanye ne kaweefube w’okuzimba ettendekero erinaawemmenta obukadde bwa doola za Amerika 30. Ettendekero lino lyakuzimbibwa omwaka guno e Namanve mu Wakiso. Lino lya kubangula Bannayuganda abaagala okukuguka mu masomo g’obwanginiya okuddukanya ebyuma eby’omulembe ebikozesebwa mu makolero ag’enjawulo.