Ab'e Hoima Tebakyamira Ddagala

0
1008

Omuwendo gw’abantu abalina akawuka akaleeta mukenenya abava ku ddagala erikaweweezaako liyite ARVS mu disitulikiti y’e Hoima gweraliikirizza ab’ebyobulamu oludda olwo olukutya ekiyinza okuddirira. Abaakuguka mu by’okujjanjaba abantu bagamba nti kino kyakwongera okusa akazito ku bujanjabi mpozi nookuzingamya kaweefube wa Uganda okumalawo siriimu naddala ekiruubirirwa kya gavumenti yaakuno ekya 2030.