Ebbanja Lya Poliisi Terigiganya Kwetaaya -Kayihura

0
793

Ssaabaduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura ayogedde ebimu ku bisibye obumenyi bw’amateeka mu bitundu bya Uganda ebitali bimu ng’okusingira ddala butaba na nsimbi zimala poliisi kukakkalabya mirimu gyayo ate ng’anabaserikale tebamala. Kayihura agamba poliisi yaakwongera okutendeka basajja baayo basobole okukuguka mu kunonyereza ku misango n’okutangira obumenyi bwamateeka. Wabula ye Minisita w’ensonga zoomunda mu ggwanga Gen. Jeje Odongo abakulembera poliisi abawadde ga buwa, nti bakole ekisoboka okulaba nga batereeza ekifananyi kyayo, kyagamba nti kikakanye nnyo ensangi zibo.