Persis Namuganza Akaabye ku Kakiiko Lwa Kadaga

0
923

Minisita Omubeezi Ow’ebyettaka Persis Namuganza atulise n’akaaba n’amaziga negakuluta bw’abadde mu kakiiko ka paalamenti ng’annyonnyola endooliito eziriwo wakati we ne Sipiika wa paalamenti Rebecca Kadaga. Namuganza asabye akakiiko ka paalamenti akakwasisa empisa kakome ku sipiika Kadaga era kamulagire awe woofiisi ye ekitiibwa, ave mu nsonga z’Obwakyabazinga bwa Busoga kubanga ziva ku buzaale.