Omusolo ku 'WhatsApp' Waakusigalawo

0
923

Government ya Uganda ebakanye ne kawefube w’okuteekateeka enkola enesobozesa kampuni z’ebyempuliziganya ne Tekinologiya mu Uganda okugabana ebikozesebwa naddala mumiyungiragano gya yitanenti kikendeeze ebisale bya yintanenti ebibinikibwa Bannayugabda. Bino byatuddwa Minisita w’ebyempuliziganya, tekinologiya n’okulungamya eggwanga Frank Tumwebaze bw’abadde agulawo olutuula olwe 19 olw’ekibiina ekigatta ebitongole ebirungamya ebyenpuliziganya ne tekinologiya mu Africa wansi w’omukago ogubagatta ogwa; Africa Telecommunications Union ku Hotel Africana mu Kampala.