Amaka Gano Gatawanyizibwa Nsimbu

0
926

Wadde nga Gavumenti eramula kuno essira eritadde nnyo kukikwatagana n’okulwanyisa Mukenenya n’omusujja oguletebwa ensiri , wakyaliwo okusomozebwa kw’eddwadde endala nyingi ezitugumbula bannansi buli lukya naye ate teziteredwako manyi gamala okuzirwanyisa gamba nga esimbu. E buddu eno gyetugwiridde ku maka agalimu abalwadde bensimbu munaana nga kati bano balaajana okufuna obuyambi kubanga obulwadde bubamazeeko egya Nakakawa.