Bamaama Tebasaana Kufiira mu Ssanya – Ababaka

0
857

Gavumenti eweze nga bwegenda okunoonyereza ku basawo mu malwaliro gaayo abeefudde mmo mu kupeeka abalwadde ensimbi okubakolako nga bagenzeeyo okujjanjabwa. Enteekateeka ya gavumenti ezze oluvanyuma lwa paalimwenti okufuna okwemulugunya okuva mu bantu naddala ba nakazadde, nti baabuwe bwebagenda mu lwaliro eyo gyebasuubira obuweereza obwobwereere, olwo abasawo nebawoza jjo jjuuzi nga baagala ensimbi okukukwatako.