Okuddamu Okukwata Kalule Kikyamu – Bannamateeka

0
80

Ekibiina ekigatta bannamateeka mu Uganda ekya Uganda Law Society kiwandiikidde Ssaabawolereza wa Gavt omukuku gw’ebbulawa nga kimutuma, alabule Gavt n’okukoma ku basajja baayo abakuumaddembe, okukomya okuyisa olugaayu mu kkooti za Uganda. Kino kidiridde abantu ababadde bambadde engoye ezabuliggyo nga bayambibwako poliisi okukwata Dr. Ismail Kalule olunaku olw’eggulo, omulamuzi Moses Mukiibi gweyabadde akirizza okweyimirirwa. Kino bannamateeka bakivumiridde nnyo era nebagamba nti kityoboola eddembe ly’abavunaanwa n’okuyisa olugaayu mu kusalawo lwa kooti.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here