Obunkenke Mu Bawagizi Ba FDC

0
873

Abawagazi b’ekibiina ekivuganya Gavt KI FDC e Jinja bali ku bunkenke kwa bannaabwe wamu n’abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda okukwatibwa mu bikwekweto ebikolebwa abebyokwerinda mu ggwanga ng’entabwe eva ku kalulu ka Jinja East akaakagwa. Abaduumizi ba police omuli RPC ne DPC nabo bagobweddwa ku mirimu olw’ebigambibwa nti beetaba mu mivuyo gy’akalulu egyaviirako munna-NRM Nathana Igeme Nabeta okuwagulwa munna-FDC Paul Mwiru.