Nalufenya Wakuggalibwa Gyebujja

0
759

Polisi emaliliza enteekateeka zona ez’okuggala ekkomera lye Nalufenya elisangibwa mu district ye Jinja elibadde likozesebwa nga ekifo awatulugunyizibwa abantu ababa bakwatiddwa.
Ssabadumizi we kitongole kyamugwanga Martin Okoth Ochola ngaalabiseko mu kakiiko ka palamenti akakola kubyokwerinda agambye nti ekisigalidde ye kwekuteka omukono kukiwandikoo kugala e komera liino elibadde lifuse ekivumo eli e kitongole kya poliisi.