Bino Minisita Amongi By’agambibwa Okwegwanyiza

0
1135

Minisita w’ebyettaka Betty Amongi kati ennaku bbiri alabikako mu kakiiko ka Bamugemereire anoonyereza ku mivuyo egiri mu nsonga z’ettaka mu Uganda, okunnyonnyola ku mayitire g’ettaka erisangibwa mu kibuga wano ku luguudo lwa Acacia n’ettaka eddala mu kibuga. KKamera zaffe zituseeko ku bifo awali ettaka eteereddwako amaaso twetegereze obugagga Amongi bwayagala okwezza, era ebiyinza okuba nti byebimuzaalidde ebitukula makaayi byazaalira ku nsiko.