'Abatemu' Battiddwa e Wakiso

0
918

Abatuuze b’e Kabuuma mu munisipaali ya Makindye Ssaabagabo bakedde kukkakkana ku basajaja babiri nebabakuba emiggo egibaggye mu budde nga babateebereza okuba abamu kwabo abasuza ekitundu ku tebukye. Abatuuze bagamba abattiddwa babadde bamaze ebbanga nga babalimiisa era nga bano be bamu kwabo ababadde babawandiikira ebibaluwa nebabasaba ssente bwezibabula olwo nebalumba ekiro nebabatematema.