Omutamiivu Awadde Poliisi Emirimu

0
59

Poliisi y’omukitundu e Busega wamu n’ebitongole ebikuuma ddembe okubadde poliisi erwanyisa obutujju n’aabazimya mooto bagumbye ku kyaalo kya Busega Central A mu maka ga Kironde omutuuze ku kyaalo kino ku bigambibwa okuba nti abadde n’eby’okulwanyisa era nti yabadde abiziikidde mu nkokoto mu nnyumba ye. Yiga munywaanyi wa Kironde yeyayise poliisi bukubirire okufuuza munne Kironde oba nga ddala alina eby’okulwanyisa wabula poliisi terina kintu kyonna kyesanze ewa Kironde era bw’etyo nemuzaayo ku poliisi e Kibumbiro.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here