Besigye ne Bobi Tebaawagire mu ku Luno

0
918

Akalulu akabindabinda mu kibuga Bugiri kongedde okwabuluza mu booludda oluvuganya nga kati abamu basazeewo bawagire abantu abenjawulo oluvannyuma lwenjuyi zombi okulemererwa okukkanya okuwagira omuntu omu. Mu kalulu kano akeesimbyemu munna JEMA Asuma Basalirwa ne munna FDC Eunice Namatende, kyeraze lwatu nti Dr. Kizza Besigye waakuwagira munnakibiina Eunice Namatende ate Bobi Wine oba Robert Kyagulanyi agamba afiira ku Asuman Basalirwa, kubanga yaatambudde nabo mu kaweefube yenna.