Okukwatibwa kwa Kayihura Kwetugamba

0
856

Olunaku lweggulo eyali Ssaabaddumizi wa Police Gen. Karekayihura yakwatiddwa olw’ensonga ezeetololera ku byokwerinda by’eggwanga. Kayihura yagobwa ku bwa Ssabaddumizi wa poliisi, mu kiseera ng’amaze okwongerwa ekisanja. Omukiise wa Butambala mu paalamenti Muwanga Kivumbi y’omu ku babaka abatuula ku kakiiko ka Paalamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda by’eggwanga. Ono agamba nti okukwatibwa kwa Kakayihura sikwekugenda okulongosa ebyokwerinda okugyako okumanya wa ekizibu wekiva naani eyalagiranga Kayihura okukola byabadde akola.