Omusolo ku Mikutu Gunyiga Bangi, Bano Ababaka Baagala Guggyibwewo

0
987

Ababaka ba paalimenti batandise kaweefube wokukungaanya emikono nookutwala okwemulugunya kwabwe eri sipiika Rebecca A. Kadaga nga baagala paalimenti eyitibwe bunnambiro, ekubaganye ebirowoozo ku tteeka eriteeka omusolo ku ssente ezitambuzibwa ku ssimu oba mobile Money. Ababaka bano bagamba nti kyeraze lwatu nti etteeka lino linyigiriza munnansi.