Ab’e Bugiri Balondedde mu Bunkenke

0
991

Abalonzi kumi nankumi bakedde okweyiwa mubifo awalonderwa a 28 ebisangibwa mu munisipaali yekibuga Bugiri okulaba nga balonda omubaka wa palaamenti wabwe asookeddde ddala kwosa ne meeya we kibuga kiino Bugiri. Abesimbyewo bona olumaze okulonda nebewaga nga buuli omu agamba nti yagenda okukawuta Effujjo lilabiddwako mubifo ebimu nga abalonzi abaamu balumiriza buuli ludda okugulira abalonzi okulonda omuntu wabwe era nga n’omubaka wa Bukooli Central era Amyuka Ssenteebe wa kabondo kababaka ba NRM Solomony Silwany awonye okugajamburwa abawagizi ba Asuman Basalirwa era ono ekimutasiza kwekujjaayo pisito kwosa ne kamulali gwakubye mubantu.