Amos Nzei Talabiseeko ku Kakiiko K'ttaka, Sarah Kulata Atuuyanye Lwa Bibuuzo

0
879

Nnagagga womu Kampala Amos Nzeyi awonye eggandaala lya Ssaabiti okulimala mu kaddukulu oluvannyuma lwa ba bannamateekabe aba Muwema okuwandiikira akakiiko akanonyereza ku mivuyo gy’ettaka nga agamba nti tali mugwanga era nasaba aweebwe obudde okutuusa nga munaama omwezi guno. Bino biddiriddiride Nzeyi okussibwako ekibaluwa ki bakuntumye olunaku lweggulo nga alangibwa okwebulankanya bweyayitibwa okubaako byanyonyola kubigambibwa nti yabba ettaka ly’omugenzi Daniel Mugwanya naaliguza ekitongole kyekitavu kya bakozi NSSF. Ono olubuze akakiiko essungu akakiiko ne kalimalira ku eyali omuwandiisi w’eggwandiziso lye byapa Sarah Kulata.