Eyasobya ku Muwala we Gamumyuse

0
992

Taata ssedduvutto kkooti enkulu e Mukono gweyasingisa omusango gw’okukabasanya muwala we ow’emyaka 6 nga 20 omwezi oguwedde olwaleero awereddwa ekibonerezo kya kusibwa obulamu bw’asigazza ku nsi bwonna. Margret Mutonyi omulamuzi wa kkoti enkulu e Mukono, y’akaliza Tom Mulinde kuba omusango gweyazza gwa nnaggomola era nga tasaana kuba na bantu okusingira ddala abaana abato; bw’atyo n’amusiba mayisa mu kkomera ekkulu e Luzira.