Omusamize Akiguddeko e Luweero

0
1021

Poliisi n’abatuuze basiitaanye okwaza essabo ly’omusamize omu e Luweero olw’oluggya lwebasimudde nga lukaluba okukamala anti nga baaluzimbisa nkonko engumu okukamala. Bino bibadde ku kukyalo kikasa mu ggombolola y’e Katikamu mu luweero, ew’omusamize James Lutwama abadde agambibwa nti yandiba yoomu ku babadde batta abantu kyokka mu kusimula basanzeeyo nkufiira na kkapa nga nsibe akakira.