Bapuliida Balina Ebibuuzo Byebabuuza ku Musango gwa Bobi Wine

0
1045

Bannamateeka balumirizza gavumenti okwerimbika mu mateeka ne kooti y’amagye okulwana entalo z’ebyobufuzi n’okukkakkanya ettutumu lya bannabyabufuzi . Bano abagamba nti emisango egyekuusa ku butujju, okulya munsi olukwe n’emirala gize gijwetekebwa ku bannabyabufuzi bangi wabula nga tegibeerako bujulizi. oluvannyuma lw’ebyaliwo mu Arua ku Bbalazaa ya wiiki eno, bannabyabufuzi abalala bagugddwaka emisango gyegimu nga kati ekiringa ekifuuse ekya bulijjo kyokka nga kirinnyirira eddembe ly’obuntu.