Ababaka ku Kkooti Nsukkulumu, Baagala Ekkomo ku Myaka

0
778

Ababaka ba paalamenti abaawakanya okuggya ekkomo ku myaka omuntu kw’alina okukoma okwesimbawo batutte okujulira waabwe mu kkooti ejjulirwamu nga bawakanya okusalawo kwa kkooti etaputaputa ssemateeka kweyakola nga 26 Ogwomusanvu omwaka guno. Bano nga bayita mu bannamateeka baabwe okujulira kuno bakwesigamizza ku nsonga 24 zebataamatira mu nsala ya kkooti etaputa ssemateeka.

More News