Alina Siriimu Mira Eddagala nga Bw'osaba

0
813

Abalina akawuka akaleeta Mukenenya e Jinja bacooomedde abasumba b’abalokole ababagaana okumira empeke eziweweeza ku kawuka. Abantu bano nga boogerako mu kukuza olunaku lwa TASO e Jinja, balumirizza abasumba b’abalokole nti bebavuddeko akawuka akaleeta siliimu okweyongera mu ggwanga. Ebigambo bya bano biwuniikirizza abakungu okuva ku kakiiko akafuzi aka TASO abalabudde abasumba okukomya omuze guno.