Bobi Wine Akedde mu Ekelezia Kumusabira

0
791

Bwanamukulu w’ekelezia y’e Gayaza Father Jude Makanga ayambalidde abatimpula Bannayuganda emigobante olw’okwambala ebimyufu nti bakikomye kubanga okubakuba tekikyusa ndowooza yaabwe.
Bwana mukulu bino abyogeredde mu kusaba kw’okwebaza Katonda okubadde ku ekelezia ya Our Lady of Good Counsel e Gayaza okwetabiddwamu n’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi.