Abeseenze ku Ttaka Ly'ebibira e Buvuma Basenguddwa

0
691

Abatuuze abasoba mu 300 mu Ggombolola ye Busamuzi mu disitulikiti ye Buvuma tebalina webegeka luba oluvanyuma lw’abasajja abaali mu byambalo bya maggye nga babagalidde nemmundu okubagoba ku ttaka. Wetutuukiddeyo nga enyumba eziwera zokeddwa era banyinizo abamu nebakwattibwa atte abasobodde okwemulula kati tebalina webasula.