Abaalina Amaka Kati Bapangisa

0
1001

Abatuuze abaagobwa ku ttaka ku kyalo Kirangira mu Disituliti ye Mukono bakyali mu bweralikirivu n’okuwamanta kyabazza eri omumwa oluvanyuma lw’okumenyebwa amayumba gabwe n’okusanyawo emmere yabwe nga bagobaganyizibwa. Gyo lyabalamu omukulembeeze yabaddeko mu kitundu kino, era nayimiriza ebyobutagoba bantu kuttaka, naye tuzeeyo okuzuula embeera bano gyebalimu, abamu tusanze bafuuka dda emomboze.