Aba ‘Red Pepper’ Bazzeyo E Nalufenya

0
19

Abakulira olupapula lw’amawulire olwa Red Pepper basimbiddwa mu kkooti olwaleero nebaggulwako emisanga mingi ddala nga neegimu kugino kwekutabambula eddembe ly’abantu basatu okuli n’omukulu afuga kuno Yoweri Kaguta Museveni. Bano baakwatibwa oluvanyuma lwa poliisi okuzingako olupapula luno era neebowa ebintu ebyenjawulo, olw’amawulire gaabafulumya nga gavumenti yaakuno erina engeri gyeyagala okufutiza n’okuvuunika gavumenti ya Paul kagame afuga e Rwanda.