Ababaka Basiimye Odinga ne Uhuru Kenyatta

0
1032

Omukulembeze wa Kenya Uhuru Kennyata asisinkanye munne bwe bavuganya mu kulonda okwo mwaka oguwedde Raila Odinga. Gunno gwe mulundi ogusoose ababiri bano okusisinkana bukya akalulu akazza Kenyatta mu ntebe kagwa. Mukwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lw’akafubo, bano bategezeeza nti kye kiseera bbo nga abakulembezze okukola ku kusomooza eggwanga lino kwe lyolekedde n’okumalawo enjawukana ezikosa enkulakulana ye ggwanga.