Abavubuka Ba UYD Bayimbuddwa ku Kakalu ka Kkooti

0
946

Abavubuka b’ekibiina kya Democratic Party kyaddaaki kkooti ebayimbudde ku kakalu ka bukadde butaano.
Bano bavunaanibwa gwa kukuma mu bantu omuliro, bwebagumba ebweru wekizimbe kya paalimenti nebeekalakaasa nga bawakanya ebbago ku kujja ekkomo ku myaka gy’abalamuzi n’abakungu b’akakiiko k’ebyokulonda elyaali lyanjuddwa omubaka Kafeero Ssekitooleko.
Wabula omulamuzi Aciro Joan bwabadde awa ensala ye ku kusaba kwabwe okweyimirirwa, abakuutidde obutenyigira mu bikolwa bimenya mateeka anti omusango guno gukyawulirwa.