Abawagizi Ba Kayihura 'Beefuze' Kkooti

0
1104

Abawagizi ba Ssaabaduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura bakoze effujjo lyotolabanga ku kkooti e Makindye enkya ya leero, omubadde n’okwagala okukuba omuloodi mmeeya wa Kampala ne ba puliida be olwokuwalawala muntu waabwe Kayihura nebamukuba mu mbuga okumuvunaana.
Wano omuloodi Ssaalongo Erias Lukwago ajjiddwawo nga talaba mabega na mumaaso okumutaasa abantu ababadde beesomye. Bino bizze oluvanyuma lwa kkooti e Makindye okuyita Kayihura alabikeko mu kkooti eno okunnyonyola ku bya poliisi gyakulembera okutulugunya bannayuganda wakati wa 2010 ne 2016.
Kabadde kanyoolagano ku kkooti.